Zulitums – Oluvannyuma Lyrics

Oluvannyuma Lyrics – Zulitums

Oluvannyuma olw’oluvannyuma
Nga mpunzika cinema ow’oluvannyuma
Engoye ezimyansa ffe tulizambala
Ndiyatula mu lwatu ow’oluvannyuma
Omumbejja wange ng’olina akadde
Nga n’omulangira nina obudde
Ebibatu byaffe nga byekutte
Nga tubayitako bagamba ye abaffe!

Liriba ssanyu oluvannyuma nze akubuulira
Oliddamu kibuuzo lwaki nkwagala bino
Ebyokunsi ne mu bwengula
Olugendo lw’obulamu bwaffe lwa kuwanvuwa
Omumbejja wange ng’olina akadde
Nga n’omulangira nina obudde
Mukama oyo apima obudde
Ba mugumu kuba tumwekutte

Oluvannyuma olw’oluvannyuma
Liriba ssanyu ery’oluvannyuma
Nsuubiza ndikwagala obulamu bwe nina
Nze naawe oluvannyuma eeh eh
Aah, ah
Hmmm ah
Ah aah
Ah ah aah

You know when you found me,
I kinda knew we go be alright,
If only you could look inside me
Nga muti munda wabala
Nnyamba, w’obuzeemu just tell me
Gwe ngaba guba gulina okunoga
Gwe manya, nkola nnyo babe
Mu mbeera yonna tulina okuloka

Liriba ssanyu oluvannyuma nze akubuulira
Omumbejja wange ng’olina akadde (ng’olina)
Nga n’omulangira nina obudde
Mukama oyo apima obudde (y’apima)
Ba mugumu kuba tumwekutte

Oluvannyuma olw’oluvannyuma
Liriba ssanyu ery’oluvannyuma
Nsuubiza ndikwagala n’obulamu bwe nina
Nze naawe oluvannyuma eeh eh
Ah, ah
Hmmm uh, ah
Ah aah
Ah, ah, aah
Ah aah

:Oluvannyuma Lyrics – Zulitums

You may also like...