Paul Kafeero – Ekijjankunene Part 1 Lyrics

Ekijjankunene Part 1 Lyrics – Paul Kafeero

Abange nsoose ne nsiriikirira
Nga njiiya ebinaanyuma
Okuva e Kyaggwe nakutte esooka
Eyo ewaffe e Bukunja ku nkuzi
Nga n’ekibinja kye nzijiddemu
Kya bazzukulu ba Ssebadduka
Omwenge guno gunnyumira nnyo
Naye leero nsibye sigunywedde
Nnyumye nga n’omutwe nina mulamu
Muleme kukayita katwewungu ka kunywa
Ewa nagagga Diikuula
Kafeero gye nali nga mpakasa
Nga n’omulimu gwe napatanayo
Gwa kumukubira bbulooka ze
Ekyali ewa bifeekeera wali
Mwami oyo kudaazanga mukazi we
Bambi yeesibanga nziina
Kale ku muka omugagga kyennyamiza nnyo
Bwatyo yatuulanga ku maggwa
Ng’omwami oluusi adda nkeera
Yakogga n’asinga n’oluti
Ng’obuyinike bumususseeko
Diiku yalaba tebimumalidde
Ng’ayiiya kuwasa number two labayo

Era olunaku lwakeera lumu
Nga Diiku alaalika bw’anaawasa
Kaddulubaale ne yekanga nnyo
Era ebyo yabikkirizanga alaama bibye
N’ateebereza ogenda ku ndagu
Ng’ensawo kitaawe emwaka busana
Kye yava ayagala obitugga adduke
Aleke Diiku awase buteekeka
Ng’olwo omwami atambuliddewo
Okugenda okunona Ndibassa we
Era yaleka aduumiriddeko
Kaddulubaale okuyonja awaka
N’ekisenge n’akiraalika
Kiyonjebwe omunaasula mugole we

Eriiso lya Mukama bw’olimanyi
Ku muyinike lyekkaanya nnyo
Omukyala ono yapalappalanya nnyo
Ng’ekyomugatta kimususseeko
Era mu kulowoolereza ennyo
Kabugezi n’amweyoleka
Omwo mu nju ya Diikuula
Ku malidaadi gwe yali atimbyemu
Mwalimu akaliba nga katimbiddwa
Kaali ka mmondo bwe kyali kirabika
Ako omukyala n’akawanulayo
N’akazinga mu nkula yaako
N’akasiba ne kajja kanywera
Yasiba mu ngeri eyewuunyisa
N’anoonya akabugo akasensuse
N’ensimbi eŋŋanda n’asibira kuli
Ku malidaadi waaliwo n’emboobo
Yawanulwayo n’ebikkwa kuli
Kyokka yawunda ekintu kiri
Nga bw’okisanga mu kkubo owalabukamu
Oba obulege bwo yabuggya wa?
Ng’asibye kuli yetoolozza
Yawunda ekintu kiri
Nga bw’okisanga mu kkubo owalabukamu
Kaddulubaale ebyo olwabimala
Ng’afuna akabbo ng’akissaamu
Ebisente bino ebikadde by’omanyi
Ebyo abifuna ng’ayiwa muli
Olweza n’olubombo oluwotose
Ng’abikkirira ku kijjankunene
Bwe yamala n’ajja akikusika
Mu kisenge omugole kyanaasulamu
Ebyo yabikola amaliridde kimu
Nti Diiku ku luno afuuka musezi lwaleero

Bwatyo aba akyekejja ayonja waka
Diikuula ne basonga n’eggwala
Abange kye mbabuulira
Oli teyali mukazi kyana kya mbogo
Nga Kaddulubaale ayaniriza
Ng’abatikkula bye beetisse
Yateekateeka mangu eby’okulya
Yogaayoga ku mmeeza okugabula abagenyi
Emmere omugole olwagikombako
Kye yatuukirako kujerega mufumbi
Mbu okusiika akugezaako
Naye obutungulu bwayidde?
Dear Diiku gwe owulira otya?
Nze bunnyiyisizza enva ze bulimu
Kaddulubaale yaboggokerwa bba
Nti ggyawo ebimere byo mutumbaavu ggwe!
Aba atinattina ajje abiggyewo
Ne bamubatiza erinnya ly’oluyi
Bwatyo ne ku chai w’enkeera
Ng’era omugole ajerega bujerezi
Mbu ono eby’okufumba byamugwa kkono
Entangawuzi mbissi zinnyiyisizza
Era Diiku ne yekoboggoza
Nga gy’obeera bulijjo tabirya!

Ennaku ssatu ze nabalaabalamu
Nga Diiku agenda okola ne mugole we
Kulwokuna olwo ng’amuleka waka
Na Kaddulubaale kukkwazza mirimu
Era yaleka alagidde Kaddu we
Alage omugole ebintu byomaka
Diikuula olwabulirayo
Kaddulubaale yatandikirawo
Yasookera ku kutwala mugole
Okumulaga gye banaalima
Bwe baava eyo ng’amuzza waka
Ng’amala amuyingiza mu nju
Bwe yeekuba mu kisenge kya mugole
Ng’aggyayo ekintu kye yali asibye
Ggwe gwennyumiza okijjukira kiri
Nze kye nayise ekijjankunene
Ddoboozi yayogeza lya ggwowo
Ye Kaddulubaale ali n’omugole
Nti kino mukyala kintu kya balo
Era ky’ekitukuuma n’awaka
Wamuwulidde bw’abindaalika
Okubikulaga mbimaleyo
Kiikyo osaana okisituleko
Okitwale emmanju okyanikeko
Ako akabugo okakisumululeko
Wabula tekigwa obubi ogenderera
Munnange mukyala mugole
Ekintu tekigwa obubi ogenderera
Era olaamiriza oyogera nnyo
Nti nze mukazi wammwe ndi mugole
Ba jajja neetegese nnyo
Okukola Diiku bye mwamusaba
Kaddulubaale ng’ayogera era
Anti wulira atengula munne
Yoola ku bu ssente bw’olina
Osuulemu ekigali ng’okakasizza
Totintima mukyala mugole
Kino kintu kitono nnyo
Ng’omaze nnyabo okyanikako
Okukizza okyetikka ku mutwe
Ke kinaakwerippa ku nviiri zo
Totya nnyabo okwo kubeera kusiimwa
Mu matumbi bw’owulira ekinnyogoga
Teweekanga era kinaaba kyo
Oba ebbeere kinaalituulako
Oba kuyonka ky’ekinaamanya
Kwata nno mukyala mugole
Leka naawe kutya bibamba bya waka
Oooooh

Mukyala mugole yeekanga nnyo
Ekintu okukiggya gye yali asuze
Bwe yalaba bimulemesezza
Ge yasala ga kulaya nduulu
Waalaala eno anoonya nsawo ye
Amyanse aviire ekijjankunene
Yafuba n’asalinkiriza nnyo
Tagwa ku bba Diikuula omusezi
Ng’adduka olwo ekijjankunene
Agalisera aligajja wa?
Ŋenda okuva mu nnimiro gye nali
Okujja okudduukirira enduulu
Nsanga mukyala nnyinimu
Amateera gamuyitamu
Era kwe kuŋŋamba amangu ennyo
Nti Kafeero suula eri akatiba ko
Ojje olye ku bino eby’obugole
Nga nange olwo ntyabula gaganye
Back back back to back
Back back to back back to back
Nze eyava n’ekiweewu mu nnimiro eri
Nakira nnyinimu kukavvula bikapa
Ago amaaso ge mulabye gakyuka
Bbaasi y’e Nkokonjeru eno endekawo
Mpozzi mpaamu ku kijjankunene
Naye naasula wa nga bandese?
Yiiyo ab’e Kyaggwe mututya
Munninde lwe ndikomawo

Ekijjankunene Part 1 Lyrics – Paul Kafeero

Ekijjankunene Part 1 Lyrics – Paul Kafeero

You may also like...