Genius Omuzira – Tobikuliriza Lyrics

Tobikuliriza Lyrics – Genius Omuzira

Tokuliriza
Guno omulamwa nga Innocent Tegusuulwa
Ngukubye nga topic enkulu Kasente
Ka baby kange nako nga Anne Kansiime
(Eyo Scoffi)
Genius Omuzira

Kano ndabye tekalinda
Ne nsalawo okanguyira
Nga ndaba bwe nkalwamu
Ssi kuba abazigu bakanswama
Ŋambye nkakubye ku lwange era
Sirina beef nti eno
Ebikalimu bulimba by’owulidde tobikuliriza

Chance Nalubega gye namufunamu y’ankolera
Nali kaana kato Lubwama n’ampeerera
Nga mu bonna nze nina Roz by’ayagala
Mu kuvuganya ne Tommy race ne nziwangula
Ku ky’okupambana ye Julie muteesaasira
Era Mariam mulinde nga yeevulumula
Ku nsi kuno ekitiisa Betty mpologoma
Ne bw’aba n’oluyombo ku Hellen lukoma
Langi esinga okolera Zanie brown
Ekitava ku mumwa gwa Mikie wine
Obulungi bw’eba lead ya Jazmine
Ye deemu akubisa ne Maulana rain
Nange amataala okufaanana nga Beenie ganta
Mu love bwe mbeera bread Serena butter
N’ewaka wannyumira Karitas k’aliyo
Kkapa kati zindyako ennyama ne sifaayo

Kano ndabye tekalinda
Ne nsalawo okanguyira
Nga ndaba bwe nkalwamu
Ssi kuba abazigu bakanswama
Ŋambye nkakubye ku lwange era
Sirina beef nti eno
Ebikalimu bulimba by’owulidde tobikuliriza

Ssiriva Kyagulanyi we yampa ka kibeere ki
Ebyange binfaanana tebifaanana Richie
Buli cinema gye ndaba ku TV nka
Bwe ndaba bwenti ku Cindy sanyu lyokka
Bw’osalawo nti okoppe ku Shidy sitayiro
Awo oba owakudde ku David lutalo
Mu kulwana ekyewagisa Ronald mayinja
Sophie Gombya nabukalu era ensulo tajja
Desire Luzinda gye nkulinamu kuva buto
Nalemwa n’okubalira nga Zahara total
Tamale emirundi gye bamufeze nga embuto
Alaba nga eky’okwesonyiwa Jackie kizito
Mugisha muntu wa mivuyo ppaka na kati
Katono balwane ne Miles lwa miti
Nzize okkuba ekigambo oluggi Naava aggule
Gwe awulira obuvumu nga waguma kisuule

Kano ndabye tekalinda
Ne nsalawo okanguyira
Nga ndaba bwe nkalwamu
Ssi kuba abazigu bakanswama
Ŋambye nkakubye ku lwange era
Sirina beef nti eno
Ebikalimu bulimba by’owulidde tobikuliriza

Summary Matovu gwe yakola nga namukoppa
Josephat seguya gwe ne bw’otampa
Nayiira Ali zi flow ne nteekamu n’ejjoogo
Kuba rap za GNL zamba nga mu bwongo
I would have chosen Becky tukole ng’omukwano
Naye kati atijjisa Hanson ate bali luno
Mutiibwa ekyakwagaza Michael kinene
Wabula temuva ku Mayanja liiso ddene (Big Eye)
Nze ku nsonga y’okkola effujjo steady
N’ebbala mu kisaati ndyoza tondagidde
Lumu nametta Zex bi langilangi
Ng’olwo ekitulwanya ewa Sheila nva nnungi
Ku Flash love gye baamulaga mu tteppo
Mbu baali beegasse bakole ne Kazibwe couple!
Bwotaba fool figure nga nayo teyakufa
Tosobola kusabirira kalimu kange lwe kalifa

:Tobikuliriza Lyrics – Genius Omuzira

You may also like...