Bobi Wine – Byekwaso Lyrics

Byekwaso Lyrics – Bobi Wine

Life is life
And every man live it in ah him own way
But the best way to live life
Is to live with the truth in your heart

But if you stand for the truth
You better be ready to stand alone
I say, if you stand for the truth
You better be ready to stand alone
Hear me now

Ewaffe gye nakulira mu Kanoni
Waabangayo omusajja eyalinanga ssente enkumu
Byekwaso yali wa kabi mu Kanoni
Nga lw’alabikako bayita wamu ne Philly
Naye, ekiwunyisa ku ssente ze yali alina
Byekwaso yali tapowa mu city!
Nga n’oluusi ba Philly bwe bakyala
Y’abakwata ku mukono n’abaleetako mu Ghetto
Era nze okuva mu buto
Nayagala nnyo bwe nkula mbe nga Byekwaso
N’olumu nze namusalako, ne mmwebuuzisa
Nti okikola otya Byekwaco?
Yaŋŋamba bw’olikula obeera nga nze
Ssente z’olifuna, zireme kufuula muntu mulala
Obeeranga mwesimbu ebikyamu obigaane
Ebituufu, by’oba osomesanga abalala
I know that the truth will be alone in the world
Kulemerangako n’olwaniranga amazima
Buli lw’oyimirira ku mazima oyimirira bw’omu
Never ever expect no body to defend you

Baagala nnyo okugenda mu ggulu
Naye tebaagala kufa!
Baagala nnyo okugaggawala
Naye tebaagala kutuuyana!
Baagala nnyo okugenda mu ggulu
Naye tebaagala kufa!
Baagala nnyo okugaggawala
Naye tebaagala kutuuyana!

Ssente twagala eby’obugagga twagala naye
Teri kisobola kugula mwoyo
Bikyamu bikolwa buli lunaku tubiraba
Naye okubyogera kubeera nga kumira mwoyo
Nze kye nvudde nsalawo mbesonyiwe
Bye njagala okukyusa ka mbyekyusize
Oba kugogola mwala oba luzzi ka ndwezimbire
Bye njagala okusomesa abaana
Ka mbyesomeseze, ayi!
Nze kinnuma engoye okuziggyanga e China!
Nga tulima pamba tuzaala ne ba designer!
Singa twali twazimba oil refiner
Tetwalivunamidde mbeera za ba foreigner
Wabula oli buli lwakufuula begger
Ajja ne maka go n’akukolera amateeka

Baagala nnyo okugenda mu ggulu
Naye tebaagala kufa!
Baagala nnyo okugaggawala
Naye tebaagala kutuuyana!
Baagala nnyo okugenda mu ggulu
Naye tebaagala kufa!
Baagala nnyo okugaggawala
Naye tebaagala kutuuyana!

Eeh, kati nze nva waggulu nga mbagamba
Eby’ensi ebimu byo byavunda
Bwoba ne ky’okkiririzaamu
Okiyimirirangako bw’omu nga bwoli ggwe
Era bw’otankuulanga olutalo
Nga weesize mikwano gyo mba nkusaasidde
Be bamu abakujubisa ate ne bakulabisa
Kati nno osaana obegendereze
Kati amazima ga mutima gwo
Mpozzi na mwana wo
Era muzeeyi yaŋŋambye
Labirira famire yo, mukyala na baana bo
Manyi nti bangi abakuwagira
But if you stand for the truth
You better be ready to stand alone
My song, if you stand for the truth
You better be ready to stand alone
Ayaga yaga yagayo!

Baagala nnyo okugenda mu ggulu
Naye tebaagala kufa! (be bantu baffe)
Baagala nnyo okugaggawala
Naye tebaagala kutuuyana! (ayo,ayo)
Baagala nnyo okugenda mu ggulu
Naye tebaagala kufa! (be bantu baffe)
Baagala nnyo okugaggawala
Naye tebaagala kutuuyana!

Muzeeyi oba nno wabapoye
N’abasada baleke!

:Byekwaso Lyrics – Bobi Wine

You may also like...